Proverbs 19

1 aOmuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.

2 bSi kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,
n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.

3Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,
kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.

4 cObugagga buleeta emikwano mingi,
naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.

5 dOmujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.

6 eBangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.

7 fBaganda b’omwavu bonna bamwewala,
mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?

Wadde abagoberera ng’abeegayirira,
naye tabalaba.

8 gOyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.

9 hOmujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.

10 iOmusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,
kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?

11 jOmuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,
era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

12 kObusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.

13 lOmwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,
n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.

14 mEnnyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

15 nObugayaavu buleeta otulo tungi,
n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.

16 oOyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,
naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.

17 pOyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

18 qKangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,
oleme kumuwaayo mu kuzikirira.

19Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,
kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.

20 rSsangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.

21 sEnteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.

22Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,
okuba omwavu kisinga okuba omulimba.

23 tOkutya Mukama kutuusa mu bulamu;
olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.

24 uOmugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,
n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.

25 vKangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,
buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.

26 wOmwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,
aleeta obuswavu n’obuyinike.

27Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,
onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.

28 xOmujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,
n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.

29 yEbibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,
n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
Copyright information for LugEEEE